Essiga Lya Muyingo Tom Usange Eryhkasolya e Saama, Mawokota
Muyingo Tomusange alabika nga ye mwana omukulu owa Bukulu. Tekimanyiddwa bulungi oba Bukulu yagenda naye e Ssese oba yazaalirwa Ffunve. Muyingo ayogerwako nga eyawanga baana banne emirimu, okwanjula abagenyi, n’okul‘aba buli mwana kyanaakola. Ate ennyumba ya Bukulu yaliko oluggi oluganda olwedda olwa kikulule nga bwolaba olwe Kasubi ku Masiro. Oluggi luno luggalirwa munda n’omuti oguyingizibwa obukiika munda mu mpagi bbiri. Omuntu ava ebweru tasobola kuluggula. Omuti ogwo gweguyitibwa OMUYINGO. Omuti ogwo gwakwatibwanga omwana omukulu oyo Tomusange era ng’oluusi atambula nagwo mu kyaalo. Abantu kyebaava bamukazaako n’erinnya erya Muyingo. Kalenno kwekwava amannya ago gombi MUYINGO, TOMUSAN GE okumukalako. Lino erya Tomusange era kyekimu ne Tamusange lyayongerwako nga Muyingo asigadde ne bagandabe e Ffunve okubalabirira; era yalina emirimu mingi. Ng’omuntu agenze okumulaba nga bamugamba nti “tomusange” ate noli nti “tamusange”. Kwekufuuka Muyingo Tomusange oba Muyingo Tamusange. Amannya gano gatuumibwa ab’Omusu era temuli njawulo. Gwe nnanyini linnya oli waddembe okuliwaandiika nga bwebaaliwaandiika olubereberye nga jajjawo alikutuuma. Naye Owegendereze ekyuma kikalimagezi“computer kijjukira era kisoma nga bwoliwandiika bulijjo. Toteekwa kulikyusakyusa mu mpandiikayo.
Kigambibwa nti Bukulu edda yaberanga ku kyalo Ngogolo ku mugga Nambigirwa kumpi ne Mpala, Entebbe, Busiro. Era yali Kabaka mulamba! Naye Kintu bweyawangula Bemba Musota naatandikawo obwakabaka bwe, yaggyawo obwakabaka obulala obutonotono bwonna. Kalenno lumu Bukulu yayagala addekoyo ku lukalu naye yasanga obwakabakabwe nga bwagibwawo dda! Era kirabika yabula bubuzi. Tamanyiddwako gyeyaflira oba gyeyabulira (Laba Ekitabo kya C. L. Bbira, 2002).
Nga wayise ebbanga Muyingo Tomusange yesitula ne bagandabe n’abaana bonna nebasabala amaato bajje ku lukalu banoonye kitaabwe Bukulu. Baagoba ku mwalo gwe Luubu ku kyalo Buvumbo awali erisuku z’Omutaka Mbaziira owe Nyonyi. Mu kitundu ekyo wewali oluzzi Muyingo eyali alumwa ennyonta ate nga amazzi go ku mwalo mabi, kwekukemebwa anywe ku mazzi agali mu luzzi olwali ku kyalo ekyo. Oluzzi omwali amazzi Muyingo geyakemebwa okunnywa yalutuuma erinnya NABANKEMA. Ate kwaliko n’oluzzi olulala oluyitibwa BULEGA. Eyo erabika nga ye nsibuko y’amannya ago gombi okuyingira mu kika kyaffe. 0mutaka Kikomeko owe Njovu yeyali nnannyini kyalo Ssama era yeyawako Muyin go ne bagandabe, ekitundu awafuuka obutaka bwa Abomusu, nokutuusa leero. ( Omuwandiisi Paulo Teruma ye agamba nti Kikomeko yajja n’abantu bano okuva e Koome gyebaayitira nga bava e Ffunve naalyooka abasenza ku kyaalo kye).
EMITUBA gya MUYINGO TOMUSANGE egyasooka:
- NKALUBO
- NAKADDU MUKASA
- SSEMAJAMBA
- KIFUNKULU
- KAGOMBE
- MUGAAJU
- KOLONGOLA
- KASUUGA (*KASWIIGA)
AMASIGA ANA AGAASOOKA
Wetegereze: Baganda ba Muyingo beyava nabo e Ffunve nga bazadde abaana ge Masiga ana (4) amabereberye:
- MUYINGO TOMUSANGE (Kasolya)
- KISEREKE (KABANVU)
- MPEMBWA MUKONOMPASA (KIMULI)
- SSAKABIKINDI (NAKAIMA)
Wetegereze: Abemituba bwebaazaala nebeyongera obungi ate abamu nebalya obwami Muyingo Tomusange yabakuza nabafuula Amasiga ne Mituba.
Kati (2012) biyimiridde bwebiti:
AMASIGA OMWENDA (9)
- Muyingo Tomusange Kasolya e Ssama, Mawokota
- Kisereke Kabanvu e Kibanda Singo
- Kimuli Mpembwa Mukonompasa, Miruli, Koome
- Nakaddu Mukasa, e Kawoko, Buddu ( lyateekebwawo ku Kabaka Junju,nerikyusa erinnya okufuuka Kikawa . “Kikawa” Kanyolo namerawo mul 893! Mu 1993-1997 Nakaddu Mukasa yaddawo nga ava ku KanyOlo; lyetongola nga 21 January 2012).
- Nakaima Ssakabikindi, e Kiruddu, Kyagwe
- Kanyolo e Kawoko, Buddu (atasibuka mu Nakaddu Mukasa: laba wagguju era essiga lye llsaana kllyltlbwa lya Kanyojo okuva mu 1997).
- Nkalubo Ssebugwawo, e Bunono, Busiro (2003)
- Mugaaju e Bugonzi, Buddu(2006)
- Kagombe, e Busula, Rakai, Kooki(2008)
Emituba ebiri (2) gyokka egy’abaana ba Bukulu kati gyegituuka obutereevu wa Muyingo:
- Semajamba
- Kifunkulu
Wetegereze: Omutuba gwa Kasonseka guyingira mu Ssiga Nkalubo Ssebugwawo. Kasonseka yajja e Buganda ne Bukulu ku mulembe gwa Kintu.
Amannya KASUUGA ne* KASWIIGA gategeeza omuntu y’omu. Abannabuddu bamuyita Kasuuga ate ab’omusu abaagenda e Mubcnde balyatula Kaswiiga.
KASUUGA ne NYANJA gyabuzibwabuzibwa negisigala mu Kanyolo gyegitazaalibwa!



