Essiga Lya Nkalubo Ssebugwawo E Banono, Busiro.

Olubereberye Nkalubo gwaali Mutuba nga guyingira ewa mukuluwe Muyingo Tomusange e Ssama. Naye kati Nkalubo Ssebugwawo Ssiga eryatongozebwa mu 2003.

Nkalubo muganda wa Muyingo Tomusange era baava Ffunve e Ssese wamu ne baganda baabwe abalala abaana ba Bukulu.

Nkalubo yabeerako e Ssama ne muganda we; awo weyava naagenda asenga e Katabi. Bweyasaabalira e Luubu ku lyato yagoba ku mwalo e Kagero kati ye Kitubulu, Entebbe. Wano weyava naasenga e Lubaga ewa Kabaka Ndawula. Kabaka ono ye 19 owa Buganda eyaliwo nga (1674 — 1704). Ndawula yali muyizzi nnyo era nga bayigga ne Nkalubo. Era Kabaka yamwagala nnyo naamuwa omutala Bunono. Nkalubo yeyawa Ndawula amagezi ag’okukuuma  obuyonjo bweyamugamba nti Kabaka tasaana kufuluma nga bakopi. Kabaka asaana amusimire ekinnya mwaba afuluma era akozese obutundu bw’olubugo mu kifo kye bikokooma. Ndawula yasiima nnyo ekirowozo ekyamagezi bwekityo ! Edda nga abaganda ekiseera ky’okweyamba oba okufuluma kutuuse nga basima akannya mu lusuku nga obubi mwebabusuula; awo nebabikako ettaka nga bakozesa akakumbi akaatekebwanga awo ku mulyango gwe nnyumbaNkalubo yakozesa ekifumu (Kayikuzi) okusima ekinnya ekyasooka mu Buganda! Okuva olwo Ab’omusu nebawebwa okukumanga eby’obuyonjo bwomu lubiri wonna era nebafuna nerinnya erya Namusu: be ba Namusu abava mu kika ky’omusu.

Awalala laba Nakaddu Mukasa ow’Omusu e Kawoko, Buddu, nga omukomazi eya komaganga embugo ezaleetebwanga mu Lubiri olw’omulimu ogwo waggulu. Kalenno abomusu beebayiya amagezi g’ebyobuyonjo ebyesigamizibwa ku mateeka g’ebyobulamu agensi yonna ( Public Health : Pit Latrine/Tissue paper). (Owekitiibwa Stanislaus Mugwanya yayambako buyambi mukusasaannya nkolu eyo mu Buganda weyabeerera Omulamuzi wa Buganda.)

Nkalubo yali musawo wa Kabaka era na bantu; nga agaba eddagala ne nzaalo. Eddagala lino yalinoganga ku muvule omuwanvu ogwali e Bunono awo. Mbu Nkalubo yali musajja wamaanyi ate nga muwanvu ddala. Nkalubo yali mwesigwa nnyo eri Kabaka era yategeeza Kabaka nti mukulu we ye Muyingo Tomusange era omukulu we Kika ky’Omusu nakati.

Nkalubo ajjukirwako ekyafaayo kino nti omuzaana wa Kabaka Ndawula ayitibwa Nakidde Luyiga muwala wa Ssegirinya owe Ngo yali ali lubuto; lumu Kabaka yali ku mm ere nga alya omuzaana ono nakolola nawanda ekikdlondolwa. Kabaka nanyiiga nnyo nalagira Nkalubo nti omuzaana oyo asaanidde kuttibwa! Naye Nkalubo bweyazuula nga omuzaana ali lubuto lwa Beene kwekuwa yo omu ku bakazibe eyali olubuto nattibwa mu kifo kya Nakidde! Era abambowa baabagaamu omwana! Nakidde oluvamnyuma yazaala Omulangira. Nkalubo yamukweeka okutuusa lweyakula. . Naye lumu Kabaka yaya gala okulaba. ku balangira. Bwebaabaleeta abaami wamu ne Kabaka nebalaba omulangira oyo nebewunya engeri gyeyafanana Ndawula! Nkalubo kwekwevaamu nabulira Kabaka nga ye bweyakweka omuzaana oyo Kabaka gweyalagira attibwe. Ekiseera kyatuuka nazaala omwaana wa bulenzi 2 Era Nkalubo natottola nga bweyakuza omulangira oyo! Kabaka naasanyuka nnyo! Omulangira oyo natuumibwa erinnya Mawanda kubanga ‘ nnyina Nakidde Luyiga yawanda mu mmere! Ekyo ate kyayongera Nkalubo obuganzi era kigambibwa nti Kabaka Mawanda bweyalya obwakabaka oluvanyuma yatta ne Nkalubo omukago! Era n’amannya amalangira agasangibwa mu kika kyaffe nga Nasuuna, Lukeberwa, n’amalala.wegaava okuyingira mu kika ky’Omusu.

EMITUBA gya N kalubo Ssebuggwawo:

  • KIREGEYA e Bunono, Busiro
  • BUNKEDDEKO OMUNAAWA e Kaliyanya, Kyadondo. Kiregeya alimu ennyiriri bbili (2). Bunkeddeko alimu ennyiriri (23)
  • Masikkangabbo

Waliwo omutaka omu agamba nti wandibaayo omwana wa Nkalubo owokusatu. Kale bwalyeyanjula nakakasibwa tuliterezaawo.