Essica Lya Kimuli Mukonompasa Mpembwa e Koome
Omutaka Koome yalina omusu omufuge nga agutwala nga mugandawe naye lumu gwatabuka negumuluma okugulu nalwa1a naafa. Nga tamafa yalagira abaanabe nti “tewabanga alya omusu; kubanga akasolo ako ke kavuddeko okufa kwange.” Okuva olwo abaana nabazukulu bawalanya emisu negigwera ddala ku kizinga Koome.
Erinnya Kimuli lyawebwa Mukonompasa Mpembwa owomunsikirano ya Koome, Sekabaka Bukulu bweyakyalako ku kizinga kya Koome nga agenze okuwasaayo omuwala omulungi ennyo ayitibwa *Nagginda azaalibwa omutaka Nyenje owe Mamba. Bukulu yatuuka ku kizinga ng’obudde kiro. Mukonompasa Mpembwa yeyakoleeza omumuli ogwalaga Bukulu wa weyagoba. Era Bukulu yamusiima nnyo namutuuma erinnya eya KIMULI era namuteekako ne kikomo ku mukono.
Ate awalala kigambibwa nti Bukulu bweyali agenda e Ssese yayitira ku kizinga Koome era awo weyaleka omwanawe Mukonompasa Mpembwa oluvanyuma gweyatuma Kim uli nga bwolabye waggulu. (Laba C.L. Bbira Pg 73).
* Kirabika nti erinnya Nagginda wano weryaava okufuuka ery’omusu nga libbulwaamu abazzukulu kubanga, Jajja ono yali mulungi nnyo! Ate lyeyongedde okutuumibwa ennyo luno nga Abomusu bavuddemu Nabagereka wa Buganda Owekitiibwa Sylvia Nagginda!
Omutaka Kimuli aliko kati ye J.C.M. Nsinzibu Zizinga Kasajia yalondebwa nga 24 June, 2007. Mu kiwandiiko kyeyampa teyamenya mannnya ga Mituba ne Mbuga zaagyo.
Abemituba abalambika bwati:
- 301 – Omutaka Henry Mitawaana Bagiyimbe
- 302 – Omutaka Joseph Sserubo Kizza Mpembwa
- 303 – Omutuka Gwotawone
- Omutaka Edward Bulega Ssemajamba
- Omutaka Joseph Sserubbo Lwotaawone
- Omutaka Balinnoonya Tomusange Wabereka
- Omutaka Kimuli Mitala E. Lukolo
- Omutaka Kirembwe Kawogo
Abakulu abaasooka okukulira essiga lino basatu era be bano:
Koome ye yazaala Miruli. Miruli nazaala Lwazi. Bano bwebaafa



