Essiga Lya Kabanvu Kisereke e Kibanda, Singo
Kabanvu Kisereke mwana wa Bukulu. Y’omu ku baana abazaalirwa e F funve, Ssese. (Laba olukalala lwa abaana ba Bukulu). Ebyafaayo bye Singa lino ebyampeebwa Omwami Yokana Bireese, e Konge.Kyadondo, omuwandiisi we Ssiga lino, era abinnyonnyola bwati:
ERINNYA ERYA KAYUNGIRIZI
Kisereke bweyali nga agenze mu lukiiko lwa Ssabasajja Kabaka okukiika, Kabaka mweyayanjulira ekigambo ky’omukolo gweyali ayagala okukola (ekyawongo). Omusawo we yali amutegeezeczza nti ekinamalawo obuzibu obwo nga kwali okumunonyeza akasolo akayitibwa empeewo nga nnamu. Kisereke navaayo nawcra mu maaso ga Kabaka nga bwajja okugireeta nga nnamu. Ebyo olwaggwa. nagenda ku muyiggo era bwatyo nagireeta nga nnamu neke. Kabaka nayanjulirwa empeewo era nasanyuka nnyo, nagenda akola ekyo kyeyali ayagala okukola.
OLUTABAALO BWERWAGWAAWO
Olutalo bwerwasitukawo wakati wa Bunyoro ne Buganda era abatabaazi abaagenda e Bunyoro nga Kabaka takyabawuliza, naatuuza olukiiko nga ayagala okutumayo alabe ebifa mu batabaazi era bwatyo Kisereke neyesowolayo, nawera nga agamba nti tuma nze. Kabaka najjukira nti musajjawe oyo yeyamaletera gyali empeewo ennamu era bwatyo nasiima okumutuma e Bunyoro alabe ebifa ku batabaazi. Mu lugendolwe yasanga obuzibu ku migga eminene egyaali tegisomokeka, nga giiiude gibooze, era olwokubooga kwe migga kyekyalemesanga okufuna amawulire. Bwatyo Kisereke nayiiya okubajja akaato (akemmanvu) akanamusobozesanga okusomoka okugenda okulaba eyali olutabaalo. Era nagendanga nako ku mugongo olwokusomoka emigga emirala gyeyandisanze. Abantu kyebaava bamutuuma erinnya erya KABANVU n’okutuusa kati erinnya ly’Owessiga ye Kabanvu. Bweyatuuka mu ddwaniro naamala okwetegereza byonna ebiriyo nakomyawo amawulire eri Kabaka.Era Kabaka nasanyuka nnyo olw’amawulire Kabanvu geyaleeta era bwatyo Kabaka namuwa erinnya eryobwa Kay ungirizi; amakulu nti y’akola okuyunga ku byempuliziganya wakati wa basajjabe n’abalwanyi. Nabuli kati ye Kayungirizi Kabanvu.
Era namugonomolerako ettaka li’weza mailo (square mile) emu awo e Kibanda. Singo, kye kifo Kabanvu watuula era teyakoma awo namuweerako ekyaalo ekyo Kadunda kyo kiri Bulemeezi. Sekyo kyokka namuwa ne kibanja e Nansana awo n ga wanavanga akugenda okukiika mu Lubiri e Mengo. Bwatyo Kayungirizi Kabanvu naaba Omukulu we Ssiga nabuli kati.
Ekyalo Kibanda kyawebwa Kabanvu okuba eky’Obutaka ‘era kyamuwebwa Kabaka Ndawula, Kabaka wa Buganda owe 19 nga kitandikira ku Nkalubo Ssebugwawo.
Ebirala ku kyaalo Kibanda.
Kn kyaalo kino kuliko amayinja abiri eddene ne ttono. Mu makati mwameramu omuti gwebayita Omuyinj a. Bino byasinga kumanyibwa ku mulembe gwa Ssekabaka Muteea I. Mu kifo kino waliwo ejjinja abedda webawongeranga eri emisambwa (okusaba katonda waabwe) bwewabangawo okubulwa enkuba wamu ne byetaago ebirala.
Nalibuganzi, lino nalyo jjinja . Lyo lyatuula ku linalyo era okumpi nalyo waliwo oluzzi lwebayita olwa Kiwanuka. 01uzzi luno terukimibwaako mazzi mukazi ali mu nsonga, na guno gujwa. Era okumpi nalyo waliwo empuku Kabanvu mwe yaterekanga ebintubye. Mu kifo ekirala ekycsuddeko waliwo ekikindu kye bayita Nakayaga. Omuzizo gwakyo gwcgunoztckitemebwako lusansa. Bwolutemako nga obycsombedde: Embuyaga ezakabi nga zigwa mu kyaalo nga zizunza abantu era mujiramu n‘olumbe. Omala kuzizaayo empewo neryoka esirika. Mu jjinja lino eryamerako ekikindu mwabangamu omusota gwa mitwe ebiri. . Ne mu kifo mulimu oluzzi olulala nga luyitibwa Kabanvu anagejja, amazzi galwo ogasena na lwendo. Okumpi n’oluzzi lwa Kabanvuanagejja nga waliwo ejjinja eriyitibwa Nalimugole.Ekyafaayo kigamba nti Kabanvu baali bamuleetedde omukazi omugole ne bagala bawummulireko awo ku jjinja omukazi oyo kwe kutuula ku jjinja era balabiraawo nga abagoma n’omugole bafuuse mayinja ! Era mu’ biseera eby’e kyeya wabangawo amaloboozi agavaanga mu jjinja, omugole kweyatula nga gagamba nti: “Nnali mugole” olwo ejjinja eryo nerikazibwaako erinnya Nalimugole. Era nabuli kati nga luliko n’oluzzi omugibwa amazzi agokwalula abaana ba Kabanvu.
OLUSOZI BUTUMBA
Olusozi luno lwe lufuga ensozi zonna ezetolodde Kibanda. Era batwalangayo omwenge ogwokuwonga era nga bagubunya ne ku nsozi zonna eziriranyewo.
NDIRAWERU
Ekifo kino kyali kyantiisa mu mlrembe egyo era nga kya maliga kubanga lyali ttambiro lya Kabanvu, awo weyattiranga abantu abajeemu.
EMITUBA GY’ESSIGA LYA KABANVU:
- Omutuba gwa Sebutemba (201)
- Omutuba gwa Tulo (202)
- Omutuba gwa Zing’obukeedo (203)
ABAKULU ABAKALYA OBWA KABANVU MU SSIGA LINO BEEBANO:
- Kisereke
- 0 Sebutemba
- Ndolombe
- Kabanvu Kitinda Mikaaya
- 0 Nekemeya Kapalaga Kabanvu
- 0 Paul Kigongo
- Matia Bulega omwana wa Yona Kalemba ono yali ku ntebe; ava mu Mutuba gwa Sebutemba (2010)



