Essiga lya Kagombe e Busula, Kooki.

Kagombe mwana wa Bukulu. Yava Ssama ne banne; nabo nebagenda okunoonya embuga ya Bukulu. Baggukira Kooki era nebayitawo okutuuka e Kiziba, Bukoba, Tanganyika (kati ye Tanzania). Nebasenga omutaka Wayo ayitibwa Kayooza. Oluvanyuma nga wayise ebbanga baavayo nebadda e Kooki.

Kagombe yasenga omutaka Kyegetta eyali oxnuggaz? w’Omukama Ndawula; oyo ye Kamuswaga owokutaano (5). Ye Ndawula Lwabulanga. Kagombe yayanjulwa eri Kamuswaga era nafuuka omuyambi wa Kyegetta mu kukola omulimu gwobuggazi. Kagombe oyo yawebwa omuwala wa Kyegetta ayitibwa Nalweera yazaala omwana mulenzi nayitibwa Kayitere. Era Nalweera yayongera nazaalayo abaana abalala; bonna nebawera musanvu (7)., Era Kagombe oyo Omukama yamusaba abeere ku kyalo Kafunjo. Eddagala ly’omusawo oyo lyayamba Omukama okuzaala. Okuva olwo Kagombe yagatta okuba omuggazi ate n’omusawo w’Omukama.

 

Abaana ba Kagombe Omukama yabawa emirimu gino mu Lubiri nga abasiige:

  1. Magambo ye Ssebalijja – Akuuma ente
  2. Ssagala ye musawo
  3. Ggamuzaana ye yali mukomazzi ate nga akuuma nekyoxo ky’Omukama cki) itibwa Ssabagabo. Buno yabulya ku mulem. be gw’OmMLama Lubambula. Kamuswaga owomunaana (8).

Abaana ba Kayitere be bano: Emituba (6)

  • Masumi
  • Lutti
  • Kagombe
  • Kagoose
  • Bakwaaki
  • Njolombi

Omutuba omukulu gukulima Stefano Jagwc. Gulina ennyiriri nnya:

  1. Kayitere
  2. Nkangi
  3. Kireego
  4. Kalemcra

Abaana ba Kagombe: olukiiko lwe kika ky’omusu lwakiriza nerifulibwa e Ssiga eryetongodde.Kagombe yatuuzibwa ku ntebeye e Busula Rakai. Kooki mu 2008

Ebisingawo ebikwata ku bazzukulu ba Kagombe ab’omusu abali e Kooki bisange ku Pg.79 mu kitabo kya C.L. Bbira, 2002.