Essiga Lya “Kikawa” Kanyolo e Kawoko, Buddu.
Okutegeera essiga lya Kikawa Kanyolo obulungi, wetaaga okusooka okutegeera ebyafaayo n’ensikirano ya Nakaddu Mukasa. Nakaddu omubereberye eyasikirwa mutabaniwe Kabaale, ate Kabaale yasikilwa mutabaniwe Ddamulira; Ddamulira yasikirwa mutabaniwe ayitibwa Nkangi. Nkangi yalaamira omwanawe Kkolera okumusikira naye Kkolera ono ne mukuluwe ayitibwa Namwanja kitaabwe yabaleka bato! Eno ye nsonga Nkangi kyeyava asigira mugandawe Kikawa alabirire obwa Nakaddu wamu n’omulimu gw’obukomazi okutuusa abaana abo lwe balikula. Kikawa ebya nkwatiraako yabifuula bumbowa natwalira ddala entebbe y’abaana! Kikawa bweyafa ,omwaanawe Samwiri Sembuya namusikira. Sembuya (era ye Sembuya Nsereko) ono yeyabuza emundu ya Pokino Nikodemu Sebwato bweyadduka nayo okuva e Kawoko naagenda okwetaba mu ntalo za Mwanga ne Kabalega 1892/3. Essiga lya sigala ttayo! Awo ensikirano ya ba Nakaddu Mukasa we yali ekomye, kubanga Pokino Nikodemu Sebwato nga ayambibwako Katikiro Sir Apolo Kaggwa ne ExKatikiro Mukasa Nsimbe, balonda Kajane ( Paulo Kanyolo) okufuga essiga lya Kikawa (mu butuufu elya Nakaddu).
Erinnya Kikawa abantu be Kawoko balisukkulumya kulya Nakaddu Mukasa ery’Obukulu bwe Ssiga kubanga erinnya Kikawa abantu lye batwalanga nga lya ttutumu, kubanga Kikawa eyasooka yali mukubi wa ngalabi kkungwa ate nga mu kukomaga nga yerisa nkuli. Awo ba Kanyolo abatasibuka mu Nakaddu Mukasa nabo
webaatandikira okuyitibwa ba “ Kikawa” Kanyolo bwebagattako erinnya lya Kikawa!
ENNAMBIKA YA NNAKADDU NE “KIKAWA” KANYOLO.
NAKADDU MUKASA omukomazi mwana wa Muyingo e SSAMA
(Kirabika okuva eFfunve okugenda e Ssama nga muvubuka ddala). Okugendakwabwe e Buddu nga banoonya kitaabwe bali bwe bati:
MUGAAJU
KOLONGOLA
NYANJA
KASUUGA
NAKADDU MUKASA
NAKADDU MUKASA EYSOOKA
Yazaala:
KABAALE (NAKADDU MUKASA II) n’abalala
Kabaale yazaala:
DDAMULIRA (NAKADDU MUKASA III) n’abalala
Ddamulira yazaala:
N KANGI (NAKADDU IV) no KIKAWA (Nakaddu V) n’abalala. Nkangi yeyafiira e Nsimbe Mawokota nga atwala embugo za Kabaka! Naye kigambibwa nti yazikibwa Nakatema kumpi ne Nsangi mu Busiro naye amalalo ge tegalabika..
Nkangi ono yeyazaala:
KKOLERA omusika ne NAMWANJA mukulu we; naye olwokupa bombi baali bato tebasikira ntebe ya kitaabwe! Kikawa kwekusigallra ddala ku ntebe y’obwa Nakaddu!
KIKAWA omwana owomunaana owa Ddamulira, ye yasigirwa obwa NAKADDU nga bweyalamirwa NKANGI, okubukumira abaana ba Nkangi abaali abato. naye abantu be Kawoko baadibya erinnya lya NAKADDU elyensikirano nebateekawo erirye erya KIKAWA eryobuntupyo yeyafuuka Kikawa I.
KIKAWA I (Nakaddu).
Yazaala:
SEMBUYA (SAMWIRI SEMBUYA “NSEREKO”ava mu Nakaddu; eyandibadde KIKAWA II) one yeyabuza emundu ya Pokino Nikodemu Sebwaato. Pokino oyo ye yagabira Kajane
( Paulo Kanyolo) obwa Kikawa (naye kiyite Obwanakaddu) nga mu 1892 nga Sembuya adukidde e Lunnya,Gomba.
Ba” KIKAWA” abaddirira nga basibuka mu Kanyolo abayitibwa ba “Kikawa “ Kanyolo mu nsobi, bebano:
KIKAWA III ( Kajane Paulo Kanyolo) ye Kanyolo I ataali mwana asibuka mu Nakaddu II
KIKAWA IV (Victoro Lwanga) ye Kanyolo II KIKAWA V (Yozefu Wasswa) ye Kanyolo III
KIKAWA VI (Paulo Lumala) ye Kanyolb IV (Ono kati ye w’Essiga Kanyolo okuva 1997).
EBIZIBU BYA KIKAWA NE NAKADDU
KIKAWA ll ye SEMB UYANSEREKO.yagezaako okudda e Kawoko nga entalo ziwedde (1893 – 1899); ekyaddirira kyali kulwanagana okwamaanyi wakati wa KIKAWA ll (Paulo Kanyolo) ne Sembuya nokwonona amalalo ga ba Nakaddu e Kawoko ! Ekyomukisa akafo awaali ebiggya wasigalawo empaanyi era byazuuka!
Mu nkayana ezaddirira mu kwanjula olumbe lwa Kikawa V (Yozefu Wasswa), Omutaka Arthur Ddamulira muzzukulu wa Kkolera yakwata olumbe mu 1993 era mukuwozan’ganya A. Ddamulira yasinga omusango; essiga lye erya Nakaddu Mukasa omukomazi lyazzibwawo mu 1997 era atuula Makandwa, Busiro, nga liva ku lya Kikawa. Kanyolo e Kawoko. Kati e Kawoko eriyo amasiga abiri era gegano: Nakaddu Mukasa ne Kanyolo (Kikawa Kanyolo. Era Jajja Muyingo yatuuza Nakaddu V11 Hajji Muhammad Jagwe ku ntebe ye nga 21 January 2012.
Emituba:Mugaaju, Kolongola, Kasuuga, Nyanja ne Kagombe oluberyeberye gyali gituuka buterevu ewa mukulu waabwe Muyingq: naye mu kiseera Kabaka Junju weyafulira Nnakaddu Mukasa Owessiga, emituba egyo etaano gyalagima okuyingira ewa Nnakaddu nga tegyeyagalidde kubanga ssi gyegizaalibwa! Eno yali nsobi nnene nnyo! Kale nno ne mu biro bya Kikawa II ( Paulo Kanyolo) gyasigalayo. Era neeno yali nsobi yakubiri nene nnyo! Ate luno mu 1994 essiga lya Kikawa bwely ayawulwamu negafuuka abiri: Kanyolo ne Nakaddu Mukasa e Makandwa, emituba giri etaano era gyasigala wa Kanyolo! Muyingo Tamusange owe 14 (Yowasi Bulega) bweyalambula bagandabe mu Buddu n‘awalala, yateesa bulungi nnyo bweyasalawo nti bagandabe, abaana ba Bukulu beyava nabo e Ffunve nabo bafune amasiga kubanga baali bazadde era nga baaze. Nkalubo yatongozebwa mu Ssigalye mu 2003. Mugaaju yafuna essigalye mu 2006. Kagombe yafuna essigalye mu 2008.N’abalala bakyali ba ddembe okufuna agaabwe nga enkola ye kika ky ’Omusu bweri. Abaana abasibuka mu Sembuya Nsereko abasubwa okusikira entebbe ya. Nakaddu Mukasa nga bwekyandibadde singa Sembuya N‘sereko yalya obwa Kikawa 11 baayingizibwa mu Mutuba gwa Namwanja. Omutaka Muhammad Jagwe, Nakaddu Mukasa Vll aliko kati, asibuka mu Namwanja. Jukira nti Omutaka A. Ddamulira (eyafa mu June 2013) asibuka mu Kkolera muto wa Namwanja..
EBIGAMBO BYE SSIGA LYA KIKAWA e KAWOKO, BUDDU. NGA BWEBINNYONNYOLWA MU SSIGA LYA MUGAAJU.
(Laba ekiwandiiko ky’Omutaka A. Ddamulira)
NAKADDU MUKASA mwana wa Muyingo Tamusange e Ssama. Kigambibwa nti yagenda ne bakitawe abato bano: Nyanja, Mugaaju, KOlongola ne Kasuuga, okunoonya kitaabwe Bukulu nga bayita ku mbalama z’ennyanja Nalubaale kwekugguka e Buddu. Kasuuga yasenga ku kyalo Bukigizi okumpi ne Bujaju(Bukakata). Nyanja yasigala e Kalangala kumpi ne Kasasa e Buddu ku mwalo. Mugaaju, Kolongola ne Nakaddu Mukasa basenga ku lusozi Bugonzi. Mwanyinaabwe Nkajja ye yasenga Bukulula e Buddu. Nakaddu Mukasa olwokuba yali ayagala nnyo okukomaga oluvanyuma yasenguka (OYO yeyagenda ne Sabala omwana wa Mugaaju) nebagenda e Kawoko mu Buddu awali emjtuba emirungi ennyo. .
NAKADDU MUKASA I, e Kawoko, Buddu
Yazaala abaana bano:
Kiwanuka Kabaale (yeyamusikira)
Mikwano
Namagga
Nabankema
Nansaamu
NAKADDU MUKASA II (ye Kabaale)
Yazaala abaana bano:
Ddamulira (yeyamusikira)
Kabigambo
Tebulinya
Gusibye
Nsaamu
Nalwanga
NAKADDU MUKASAJII (ye Ddamulira)
Yazaala abaana 14
Abamu kubo bebano:
NKANGI (yeyasikira Ddamulira.)
KIKAWA I( mugandawe Nkangi yeyamusigira okukumira abaana: Kkolera ne Namwanja, obusika bwabwe obw’obukomazi okutuusa nga bakuze) Kikawa oyo ye mwana owomunaana owa Ddamulira teyalekera baana busika bwabwe!
NAKADDU IV (ye Nkangi eyaiii1a e Nsimbe, Mawokota naye yazikibwa Nakatema e Nsangi)
Yazaala abaana babiri e1a beebano:
Kkolera ne Namwanja. (Arthur Ddamulira yeyawoza okuzaawo Essiga era ye Nakaddu Mukasa omuggya yabulya mu 1997, e Makandwa muzukulu wa Kkolera).
KIKAWA omwaha owomunana owa Ddamulira kigambibwa nti yali wattutumu nnyo mu kukomaga nokukuba engalabi, eyandibadde Nakaddu V yeyefula KikaWa l.
Yazaala:
Sembuya Nsereko ye KIKAWA II era eyandibadde N akaddu VI) yaddukira e Lunnya, Gomba nga entalo za Mwanga ziwedde.
Sembuya Nsereko bweyadduka ,Kajane ye Paulo Kanyolo, yeyatandikawo ba Kikawa Kanyolo, naatwala-obwa Kikawa ll nga Kikawa Kanyolo e Kawoko. Ono yeyatekebwawo Pokino Sebwato kuba yaii mukoddomiwe nga awagirwa Katikiro Mukasa okubonereza abomusu abanakaddu abaali abajeemu olwukuwagira Sembuya!
Kikawa bweyasikira obukomazi abantu be Kawoko baadibya erinnya lyobwa Nakaddu Mukasa obwensikirano nebakaza e1ya Kikawa. Oyo ye Kikawa I ( omubereberye). Bweyafa mutabaniwe Samwiri Sembuya naamusikira. Sembuya ye Kikawa ll. Sembuya oyo yeyabuza emundu ya Pokino Nikodemu Sebwato era naagenda nayo neyegatta ku Mwanga ne Kabalega okulwanyisa abazungu (1893-1899). Olutalo bwerwaggwa Sembbuya nasengukira mu Lunnya e Gomba. Era eyo gyeyafunira erinnya erya Nsereko nga yekweese mu Kika kye Kkobe.
Sembuya Nsereko eyandibadde Kikawa II yagezaako okudda e Kawoko newabaawo okulwanagana kwamaanyi nnyo era ebiggya byaba Nakaddu ne byononebwa wabula awali ebiggya wasigalawo Dluwaanyi. Era obwa Kikawa nebusigala nga. tewali abulabiririra. Kigambibwa nti Mudduabeera omwana wa Mugaaju, era ye kitaawe wa Nyago, Nyago nga ye kitaawe wa Omw.Eriya Ganafa azaala Dr J.G.M. Jagwe, Mugaaju I e Bugonzi, yakuumako ku bwa Kikawa okutuusa Pokino Sebwato, OIWOkwagala okubonereza abomusu abawagira Sembuya , kwekulonda mukoddomiwe Kajane( Paulo Kanyoio) afuge essiga lya KikaWa nayenga tasbuka mu Nakaddu ! Kigambibwa nti mwanyina wé Kajane yaIi muka Pokino Sebwato. Ku Kikawa Kanyolo’ oyo ekkomagire Iyagayalirirwa nnyo era nerisaanawo! (Laba ekitabo kya C .L.Bbira).Era luno 11 ga 21 January 2012 nga Nakaddu Vll atuuzibwa ku ntebeye e Kawoko, ebiggya bya ba Nakaddu byalagibwa wamu ne nsaamu ez’obukomazi! era n’omusika wa Nasuuna owensikirano yeyakuumanga ebiggya ebyo yaliwo nannyoiiyola eby afaayo e1a nga alaga n ’amalalo gennyini!
Ate era k1 gambibwa nti Sir Apollo Kaggwa bweyalambula Buddu nga bwe yalagirwa Kabaka Daudi Chwa II naasanga ekkomagiro eryalimu ab’omusu bokka kwekulagira mukama wabwe Kikawa I nti yaba akulira ab’omusu bonna abali e Buddu. Awe Mugaaju, Nyanja, Kolongola, Kasuuga ne Kagombe abaali abemituba egituuka obutereevu ku mukulu waabwe Muyingo webaatandikira okufugibwa Kikawa omwana wa muganda waabwe Muyingo Tamusange! Ate nga ono muzukhlu asibuka mu ba Nakaddu. Sembuya Nsereko bweyagenda e Gomba yabererayo ddalaBa Kikawa Kanyolo abava mu Kajane (ye Paulo Kanyolo): Victoro Lwanga,Yozefu Wasswa ne Paulo Lumala kwekwefuga essiga eryo okutuusa Yozefu Wasswa lwe yafa mu 1993! A. Ddamulira, muzukulu wa Kkolera ate Kkolera ne Namwanja bombi baana ba Nkangi , alyoke akwaate olumbe olwo. Arthur Ddamulira oyo yeyawoza essiga era nasinga omusango . Olukiiko lwe Kika neruzaawo e Ssiga lya Nakaddu Mukasa mu I997 nga balyawula ku lya Kikawa Kanyolo. Kikawa Kanyolo yali nga alifugidde emyaka 105!
EBYAFAAYO BYA SABALA EYAGEN DA E KAWOLO
Sabala mwana wa Mugaaju e Bugonzi naye yasenguka e BugonZi naagenda e Mpalampa kuba naye yayagala okukola omulimu gw’obukomazi. Eyo era gyeyafunira n‘Omutuba ewa Kikawa Kanyolo gyatazaalibwa! Ekyewunyisa n’omwanawe Ggobekadde naye yaweebwa Omutuba ewa Kikawa Kanyolo! Kyova osanga nga omuzzukulu wa Sabala, azaalibwa Geresomu Kirembwe, eyabbulwamu Saulo Bugonzi Lumbuye, eyasigala e Bugonzi yaweebwa Omutuba gwa Sabala e Bugonzi gyazaalibwa ddala era gukulemberwa muzukuluwe Saulo Bugonzi, omusika wa Geresomu Kirembwe e Lukuli,Kyadondo mu 2013. Tulowooza nga Emituba gino egyanyagibwa gigeenda kulaba ekitangaala gidde ewaabwe waagyo!
SABALA omwana wa Mugaaju yazaala abaana basatu:
- Saulo Bugonzi Lumbuye yasigala e Bugonzi naye yaiiira Kansiri, Bulemezi.
- Isaaya Bukulu Gobekkadde ono yagenda ne Sabala e Kawoko era yafunayo Omutuba Kisaabwa ewa Kikawa Kanyolo!
- Julaina Nakibizzi (muwala)
Bugonzi Lumbuye Saulo owa Sabala ayingira wa Mugaaju e Bugonzi era Sabala ali mu Kitabo kya Mugaaju gyalambikiddwa mu baana ba Mugaaju nga yasooka ku lupapulal.
Yazaala:
Waakalo Batyayambadde Musa e Bukala,Singo.
Tamusange lsaaka e Kigoogwa.Kyadondo.
Nakibizzi (muwala)
Namirembe (muwala)
Tamusange Isaaka owa Lumbuye
Yazaala abalongo:
Kato Mulumba (teyazaala)
Babirye Nabankema
Waakalo Batyayambadde Musa owa Lumbuye
Yazaala:
Mawemuko Falazia
Namagga Kasalina
Kirembwe Geresomu e Lukuli (yafa 8 July, 2009). Omusikawe Saulo Bugonzi ye Owomutba gwa Sabala ewa Mugaaju, 2013.
Nnakaalo Lea (Mrs Kibuuka Kirwana e Magere,Kyadondo)
Paulo Lumala, Kikawa Kanyblo VI, 6 Kawoko bwagamba mu katabo ke “ESSIGA LYA KIKAWA 2009” kwe yesigamya okwogerakwe, keyasasaanya ku kukyala kwa Nabagereka Nagginda ne Jajja Muyingo e Kawoko, nga 30 May 2009 mi abaana ba Bukulu abaava e Ssama nebaserengeta e Buddu baali Mugaaju, Sabala, Kalo ne Namagga, ayawukana nnyo naffe abe Bugonzi byetumanyi ebyawandikibwa mu 1905. Kalo taliyo! Era ayongerako nti bwebatuuka e Bugonzi nebazalirayo abaana bano: Kabaale, Nakaddu, Katusi, Nakikubye, Bitemere ne Luyonka. Abantu abo bonna tebamanyiddwa ewa Mugaaju . Kabaale omwana wa Nakaddu Mukasa amutabula naababe. Kyetumanyi kyekino nti Nakaddu Mukasa yajja ne bakitawe abato abana: Mugaaju, Kolongola, Nyanja ne Kasuuga ne Nkajja mwanyinaabwe. Nakaddu Mukasa yasenguka ku Bugonzi naagenda e Kawoko olwokwagala okuyiga okukomaga.Era ne Ddamulira mutabani wa KajumbiKizza omulala asibuka mu Kolongola e Bugonzi naye weyagendera e Kawoko. Era Omutuba gwa Kolongola oguli ewa “Kikawa” Kanyolo oguli e Kassebwera gwandiba nga ye muzzukulu Ddamulira oyo owa Kolongola eyava e Bugonzi. Ddamulira ono tatcekwa kutabulwa ne Ddamulira omwana. wa Kabaale muzzukulu wa Nakaddu.
Paulo Lumaia bwagamba nti Nakaddu nazaala Kabaale. Ddamulira
(oyo ye Ddamulira omwana wa Kabaale) ne Nnyinayo ayawukanira ddala okuva ku bimanyidwa kubanga Arthur Ddamulira agamba nti Nakaddu I yazaala abaana (5) bebano: Kiwanuka Kabaale (yeyasikira Nakaddu), Mikwano, Namagga, Nabankema ne Nansaamu. Ate era akakasa nga Kabaale (N akaddu II) yeyazaala Ddamulira (Ddamulira ono yeyazaala Nkangi ne Kikawa abava mu Nakaddu), Kabigambo, Tebulinnya, Gusibye, Nsaamu ne Nalwanga. (Laba Akatabo ka Dr J .G.M Jagwe omuko 21)
Ebya Nakikubye n’abaana beyazaala mu kitabo kye Bugonzi tebirimu era ne mubya Nakaddu Mukasa e Makandwa tebiriyo. Wabula kigambibwa nti Mutalongosa asibuka mu Ggobekadde nga muzzukulu wa Sabala yaweebwa n’obwa Katikkiro bwe Ssiga lya Kikawa III (Paulo Kanyolo) eyatwala obukulu bwa Sembuya,mu ngeri etaali nambulukufu, yeyawandiisa Kanyolo mu Mutuba gwa Mugaaju ng’ayita mu Sabala (omwana wa Mugaaju) eyazaala Gobekkadde, muzzukulu wa Mugaaju e Bugonzi! Sabala oyo yeyasenga e Mpalampa,naye kati ali Kisaabwa, Buddu .Ate mubutagoberera buzaale bwabwe Sabala ne Ggobekkadde bawebwa emituba nebayingira ewa Kikawa Kanyolo gyebatasibuka songa bazzukulu ba Mugaaju e Bugonzi! Ate ne Ddamulira owa Kolongola ne bazzukulube nabo baweebwa Omutuba oguyitibwa ogwa Kolongola ewa Kikawa Kanyolo gyebatazaalibwa. Kitalo! Omutuba gwa Kolongola guli gumu era guli ku Butaka kn lusozi Bugonzi.Gukulemberwa Omukulu Kassim Muyingo,omwana wa Amuli Batyamwambazi e Buloba . Mukulu Kassim Muyingo yesitulira ddala naava e Buloba najja abeere ku Butaka bwa Kolongola ku lusozi Bugonzi. Omutuba guno gwasalawo okugira nga guyingira ewa mugandawe mu Ssiga lya Mugaaju mu 2006.
ENNAMBIKA YA NAKADDU MUKASA e KAWOKO, BUDDU




