Essiga Lya Nakaima (SSAKABIKINDI) e Kiruddu, Kojja, Kyaggwe
Omutaka Ssakabikindi nga bagezaako okunoonya kitabwe Bukulu, yava e Ssama naasaabala ennyanja, yaggukira ku kizinga Bussi ekiri mu Buwaya, Busiro, ku mwalo Ntandaaba. Awo weyava natuuka e Kojja ku mwalo Nagooma e Kiruddu, Kyaggwe.
Baatambula babiri ne mugandawe Ssemajamba; oyo yasigala mu Mabira ge Kyaggwe. Ssakabikindi yasenga Omutaka Kanogola nga yeyakubanga empafu za Namasole. Kanogola ono lumu yasaba musajjawe ono Ssakabikindi amutwalircko empafu embuga ewa Namasole. Namasole gyeyamulabira era neyewunnya omusajja omweeru bwatyo alinga omuyima! Era oluvannyuma Namasole yamuwa obwaami obwa Ssabaddu e Lusaka namutongoza era erinnya enya Nakaima weryatandikira. Bino byaaliwo ku Ssekabaka Ssemakokiro (nga 1794).
C.L. Bbira annyonnyola bulungi nti Ssemakokiro yanyiiga nnyo kubanga yalowooza nti Namasole afunnyeyo omukopi amuwasizza. Era yali assalidde nnyina (Namasole) omusango ogwo kugwa mu bwenzi attibwe! (Ba Namasole tebaddcmgayo kufumbirwal). Bino byaaliwo mu Lukiiko omwaali abakungu bonna Kabaka lweyatuuza naalunnyonnyola amawano gano! Naye omusajja oli omweeru yeyagamba Kabaka bwonotta Nnyoko ojja kweyonka binkumu wakiri tta nze! Kabaka yewunya obuvumu bw’omusajja oyo, era weyabuliza omuziro gwe. Era Ssakabikindi yagamba nti yeddira Musu, era yava wa Muyingo e Ssama. Kabaka yasonyiwa Namasole ate ne Ssakabikindi namusonyiwa olw’obuzirabwe! Ssemakokiro yawa ekitiibwa omusa j ja oyo Ssakabikindi, nti bwalifa bamujjanga akaba (Empisa eyakolebwanga ku Bakabaka bokka. nga eggumba 1y ’oluba balibaagamu ne baliwunda nebaliteereka lyokka). Kalenno, Ssakabikindi edda bweyafanga, nga akolebwako omukolo guno era akaba ka Ssakabikindi gyekali e Kiruddu!
Namasole yawa musajjawe ono ebikomo ne misagga. Era Ssakabikindi ono Namasole yamuwa omulimu gw’Obuwonzi olw’obwesige bweyakola gyaali. Obuwonzi kitegeeza nti Namasole nga anaakyaala, Ssakabikindi yasookayo okwetegereza nti biri bulungi ate era naamuwa n‘Ogwobuwanika era emirimu gino gyombi gya Nsikirano. Ekyaalo Ntandaaba kiri Bussi era kyaliko oluzzi Noonve omwagibwanga amazzi agayalulanga abaana ba Nakaima. Waliwo n’omuti oguyitibwa Kyekoona. Omuti omulala guli Kiruddu guyitibwa Nalubaale. Amannya ge miti egyo bazzukulu ba Nakaima bagetuuma.
Nakaima bwaafa, Omutaka Kabejja ye Jajja we Ssiga eryo, atuula okulaba anasikira Essiga eryo nga amuggya mu bazzukulu ba Nakaima. Akkaanya ne banne Abemituba mu kyaama. Gwebaba basazewo amwanjula eri Muyingo; ono yamutuza ku bukulu bwe Ssiga. Okutuuza Nakaima kuyinza okukolebwa Kabejja Jajja we Ssiga naye nga Muyingo akitegeddeko. Eby’Obusiige obwamuweebwa Namasole, omusika bimukwasibwa. Era Namasole ategeezebwa. Mu biseera ebyedda ewa Namasole, Nakaimayakolangayo emikolo.
EMITUBA: Abaana ba Nakaima abe Mituba kkumi beebano:
- Kabejja e Ntahdaaba e Bussi, Busiro
- Ssekimbuyege e Kiruddu, Kyaggwe
- Mukoova e Lutengo, Kyaggwe ‘
- Namutumba e Kiruddu, Kyaggwe
- Mukwano e Katabi, Busiro
- Masaanso e Buddu
- Masanku e NakiSunga, Kyaggwe
- Ssekono e Katoogo
- Ssebalijja e Ssekanyonyi, Singo
- Ssebyato e Kasayi, Kyaggwe



