Esslga Lya Mugaaju e Bugonzi Buddu, Masaka
Mugaaju muganda wa Muyingo Tomusange era baava e Ffunve, Ssese, wamu ne baganda be abalala nga bwolabye waggulu. Kitaabwe ye Bukulu. Mugaaju yabeerako ekiseera kitono e Ssama. Ye ne bagandabe: Kolongola, Nyanja , Kasuuga ne Kagombe wamu n’omwana wa Muyingo Tomusange gweyazaalira e Ffunve, ayitibwa Nakaddu Mukasa nebasenguka nga bagendera mu maato kulubalama lwe Nnyanja Nalubaale. Kigambibwa ntl baali bakYafuba okunoonya kitaabwe Bukulu. Baagoba ku mwalo Kalangala Okumpi ne Kasasa mu Buddu. Awo ku mwalo balekawo muganda wabwe Nyanj a. Mugaaju ne Kolongola balengera olusozi Bugqnzi nebalwegoomba kwekusenguka nebambuka okuva ku nyanja nebasenga ku kyaalo Bugonzi.

Okuva ku konno, Omutaka Nkalubo Ssebugwawo, omuwandiisi Dr. Jagwe, Omw. Yon’asam’ Kajubi alabirira omutuba gwa Muddu abela, Omw. Emmanuel Jagwe, Omutaka Kasim Kilembe Kolongola, omukulu w,ekika Muyingo, , Abudl Nkalubo ne Dr: John N. Jagwe nga bali mu maka gamugaanju empugwe

Omutaka Muyiggo Tamusange(Samwiri Mukasa Bulenga ng’alamusa Dr. John Nkalubo Jagwe.)
Mugaaju yasenga emmanga w’olusozi ate Kolongola nasenga engulu ku lusozi awali akasaka (Bugonzi). Kasuuga alabika nga ye yeyongerayo ku nyanja naasenga e Bukigizi e Bukakata era ku mbalama za NalubaaleAbawandii’si abalala bagamba nti abantu bano okuva e Ssese baggukira ku mwaalo gwe Bukakata . Kasuuga naasenga ku Mutala Bukigizi awaali awalungi nnyo weyasiima nasengera ddala awo . Bagandabe awo webaava okugenda e Kalangala ,omwaalo oguli okumpi ne Kasasa.Ebyalo bino byonna biri ku lubalama lwe Nyanja Naalubaale. Kagombe yeyongerayo ku lubalama lwe Nyanja Nalubaale .nga anoonya kitaabwe Bukulu naatuka e Kiziba (Tanganyika).Gyeyava okudda e Kooki okusenga omufuzi waayo. (Laba Essiga [ya Kagombe).

Omutaka Muyingo ng ’asimba omutuba kubutaka bwa Mugaanju ebugonzi
Mugaaju nga ali e Bugonzi gyeyazaalira abaanabe kati gye Mimba. Nakaddu Mukasa omwana wa Muyingo ne Sabala omwana wa Mugaaju baava e Bugonzi nebawerezebwa e Kawoko okuyiga okukomaga. Bombi baabererayo ddala. Era eyo Nakaddu gyeyazaalira abaana bangi era gyeyafunira n’erinnya ettongole erya Nakaddu Mukasa Omukomazi era gyeyafunira Essiga ku Ssekabaka Junju nga amaze okuwereza Kabaka Junju embugo ez’Enjegula n’ez’Amakula ezikozeesebwa ba Namusu mu Lubiri. Embugo zino zaabanga nnungi era nga mpeweevu nnyo! Era Junju
kweyasinzira okumuwa ne kyalo Kawoko okubeera obutakabwe. Yakomaganga embugo nga aziwereza ewa Muyingo Tomusange era gyezavanga okutuuka ku Nkalubo Sebugwawo azituusa ku ba Namusu mu Lubiri. Baganda ba Mugaaju banozKasuuga, Kolongola ne Nyanja nabo baawerezanga abaana baabwe ewa Nakaddu mu mpalo okuyamba mu kukomaga.
Omutuba gwa Mugaaju e Bugonzi olubereberye gwalimu ennyiriri bbiri (2); zezino:
- Olunnyiriri lwa JAGWE MUDDUABEERA e Bugonzi
- Olunnyiriri lwa NATTUUMA e Buyigga.
Kino kyaterezebwa bwekiti mu 2006 ng’Omutuba gwa Mugaaju gufuuse Essiga. Mudduabeera kati Mutuba oguyingira ewa Mugaaju. Nyago omwana wa. Mudduabeera lwe Lunnyiriri (edda olwayitibwanga Olunyiriri olwa Jagwe e Bugonzi).
Omutuba gwa Mugaaju gwafuuka e Ssiga lya Mugaaju e Bugonzi, Buddu, mu 2006. Dr.Jagwe, omuwandiisi we kitabo kino yeyalondebwa kubwa Mugaaju.
Olunnyiriri lwa Nattuuma e Buyigga lwafuuka Mutuba gwa Lweserwa e Buyigga. Emituba gye Ssiga lya Mugaaju e Bugonzi gyegino egiva mu baana ba Mugaaju.
Omutuba gwa SABALA omwana wa Mugaaju (Obuzaale bwaagwo guli Bugonzi naye abazzukulu abamu bayingizibwa ewa “Kikawwa” Kanyolo mu nsobi.’ Ekiwavi ky’Omutuba gwa Sabala e Bugonzi kikulemberwa Omw. Saulo Bugonzi omwana wa Geresomu Kirembwe,era muzzukulu wa Saulo Bugonzi Lumbuye owa Sabala.)
EMITUBA GYA MUCAAJU E BUGONZI GYE GINO:
- SABALA e Bugonzi o
- KASUNSU e Bugonzi
- MUDDUABEERA e Bugonzi/Mpugwe.
- BWAKYADDA e Bugonzi /Lwamasaka
- *NSERENGUZI
- *LUMIRAMWENGE
- *BUSENZE LWESERWA e Buyigga.
- LUKANGA e Kiyanja, Buddu.
Wetegreze: * Abamfu abagivaam u tebanalabz’ka.
ABAKULU BE MITUBA GINO:
SABALA: Omw. Saulo Bugonzi e Lukuli,Kyadondo,2013.
( Abaana abaava mu Sabala ow e Mpalampa baasigalayo ewa Kanyolo e Kawoko). ‘
KASUNSU: Haji Muhamudu ‘Bulega Musoke e Mpugwe
MUDDU ABEERA: Dr. Jack Ganafa Musoke Jagwe era ye Mugaaju asooka, e Bugonzi; Gulabirirwa wamu n,Olunyiriri lwa Jagwe, Oinw. Yonasani Kajumbi.
BWAKYADDA: Omugenzi Haji Zubairi Kagga e Lwamasakft
Butambala yasikirwa Musa Tamusangé (naye gulabirirwa mutabani Bruhan Muyingo e Lwamasaka, Butambala. LWESERWA: Omw.Matia Muyingo e Buyigga, Buddu.
LUKANGA: Haji Edirisa Ssebugwawo e Kiyanja, Buddu.
ABAKULU B’ENNYIRIRI: Abakulu abaasikira ennyiriri ezo be Bakulu baazo newankubadde balina obukulu obulala waggulu.
ENNYIRIRI ZEZINO:
- GGOBEKKADDE ava mu Sabala ( Yasigalayo e Kawoko)
- KADDUMAYANJA ava mu Kasunsu
- NYAGO ava mu Mudduabeera
- *ZINGA ava mu Mudduabeera
- *WAVOMUKOZI ava mu Mudduabeera
- NANTOOKE ava mu Mudduabeera
- *KADDU ava mu Mudduabeera
- *ZIZINGA ava mu Mudduabeera
- *KAKEETO ava mu Mudduabeera
- *KABOOBI ava mu Mudduabeera
- BANADDA ava mu Mudduabeera
- MUNGI ava mu. Busenze (*Abaana ba Ali Mumpi).
- NATTUUMA ava mu Lweserwa
- KIBANDA ava mu Lweserwa .
- MUNAKUAGUBIRA ava mu Lweserwa
- *KATALE ava mu Nserenguzi
- *BUSENZE 4 ava mu Lumiramwenge l8. *KITTAMUWEMBA‘ ava‘ mu Lumiramwenge 19. KIBIRA ava mu Lukanga
*Wetegereze:
*Abaana abamu Abasikira e Mituba, Ennyiriri ne Mpya tebanazuuka oba baggwaawo! Bwebalizuuka tulibatekawo nga bwekisaanidde.
OMUTUBA GWA KOLONGOLA e Bugonzi :
ENNYIRIRI zezino:
- KAJUMBI-KIZZA (ono _ yeyazaala Ddamulira eyabulira ewa” Kikawa” Kanyolo gwayita Omzztuba gwa Kolongola e Kassebwera).
- MITO
- BIRUNGO oba BIRUNGI
- BULEZI (BIGOGOLO) eBulenge
- DDAMULIRA( mwana wa Kajumbi -Kizza) eyagenda e Kawoko
- LAMBU e Buzooba
- MUKADDE AYIGGA e Bulenge o
- *BIGOGOLO (Paulo Teruma yamwogerako yekka mu 1925)
*Kisoboka okuba nti Bigogolo yomu ye Bulezzi; mu kitabo kya Mugaaju talimu. Kiyinzika okuba nti yalina amannya abiri. Omugenzi Emmanueli T amusange, e Kanoni, Kawoko, DnJagwe, Mugaaju, yeyamulaga bwaasibuka mu Bulezi e Buyigga asibuka mu Kolongola e Bugonzi. Yali abulide ewa Kanyolo e Kawoko
EMI TUBA: KASUUGA NE NYANJA
Kigambibwa nti gino enna, Mugaaju, Kolongola, Kasuuga ne Nyanja gyaalina olukiiko lwabwe nga lutuula mu mpalo e Bugonzi ne Kasasa era Omutaka Yosamu Sabakaki e Kasasa nga ye Muwandiisi. Yosamu Sabakaki,mutabani wa Paulo Balidde, eyaberanga e Kasasa, asibuka mu mutuba gwa Nyanja e Kalangala. Omukulu Sepiriya Njuba (omwandiisi gwe yalabako) eyabeeranga e Kisanje, Mukoko, ava mu Kasuuga naye nga atuula mu Lukiiko luno kulwa Kasuuga. Omw. Adulufu Kiwanuka e Bweyo,kitaawe wa Omw. Emmanueri J j agwe, yeyaddako okukikirira Omutuba gwa Kasuuga. Emituba egyo ena (4) egyo ne Kagombe bebagattibwa e Kawoko ewa Nakaddu Mukasa ku mirembe gya Kabaka Junju.
Era kino kisaana kitegerekeke bulungi nti Kikawa eyasooka yava mu luggya lwa Nakaddu Mukasa. Abakulu abo abanna waggulu tebazalibwa Nakadu Mukasa era ne Kanyolo ssi yabazaala. Erinnya Kikawa eryandibadde lisikirwa omwanawe Samwiri Sembuya “Nsereko” (eyandibadde Kikawa owo kubiri) lyatwaalibwa Kaj ane (Paulo Kanyolo) mu butamanya, bweyawebwa entebbe ey’ensikirano ya Nakaddu Mukasa Omukomazi! Paulo Kanyolo nga alidde obwa Kikawa yegattikako erinnya lya Kikawa neyeyita “ Kikawa” Kanyolo era naatwalirako ne kyaalo kye Kawoko obutaka bwa Nakaddu! Awo we waava Mugaaju, Kolongola, Kasuuga , Nyanja ne Kagombe okwongera okufugibwa Kanyolo (ye “Kikawa “ Kanyolo) e Kawoko. Ng’ambye nti okwongera okufugibwa “Kikaawa” Kanyolo kubanga ku mulem be gwa Kabaka Junju baatekebwa mu Nakaddu Mukasa okubafuga ! Muyingo Tamusange eyaliwo mu kiseera ekyo yasalawo mi Nakaddu Mukasa alabirirenga Emituba gyonna egyaali e Buddu ne Kooki. Kubanga olubereberye nga abakulu bano: Mugaaju, Kolongola, Kasuuga, Nyanja, Kagombe ne Nakaddu omukomazi nga betuukira buterevu ku mukulu wabwe Muyingo Tomusange.
Naye kati gyawebwa oniukisa okwetereeza n’okwewandiisa gyetongole nga Amasiga. Nkalubo,Mugaaju, Kagombe, ne Nakaddu Mukasa omukomazi gimaze okwetongola. Wabula Kasuuga ne Nyanja bakyali ewa Kanyolo.‘ Kolongola ye yasalawo Omutuba gwe oguli e Bugonzi ggudde mu giga lya Muganju e Bugonzi kubanga bombi bali ku mutala gwe gumu e bogonzi. Kasuuga ne Nyanja nabo bakyayinza okwetongola kubanga ssi baana ba Kanyolo.
KASUUGA ali Bukomansimbi, Buddu.
NYANJA ali Kasasa, Buddu.
OMUTUBA GWA KASUUGA okusooka gwali Bukikizi,Buddu (Bukakata):
Kasuuga yazaala abaana bano : Ennyiririze:
- SAGALA
- NYANJA
- NSERA (NSERAWERU nga Paulo Teruma bweyawandiika mm 1908)
- KAKONGE
- LUSOMA
- MUTEMANG’UNDU
- LUGUNGA
- NTUMBWE LUMWENO
- KALEETA
- LU BAALE
- MUKOOKI
- MAGANYI
ABAANA BA NYANJA e Kalangala/Kiwewa,Buddu:
- NSWAMI
- KAKEETO
- BYAMANYI
- MAWESANO
- KUBAGANZI oba KAKUBAGANYI (Paulo Teruma bwe yawandiika)
- MBETA
- KABOOBI
- KANYENYE – muwala
- KASANGIRWA -muwala
CONSITITUTION
EMISINGI ESSIGA LYA MUGAAJU E BUGONZI KWERITAMBULIRA. AUGUST, 2007
- Essiga linayitibwanga Essiga lya Mugaaju e Bugonzi, Buddu. Lye Ssiga eryo munaana mu kika ky’Omusu, lyatongozebwa Omukulu we’Kika ky’Omusu Omutaka Samwiri Mukasa Bulega e Kitende nga 26th August 2006, e Bugonzi.
- Omukulu we Ssiga lino analondebwanga olukiiko lwabo Musu bonna abasibuka e Bugonzi, nga ava mubazzukulu ba Mugaaju Omubereberye, muganda wa Tomusange Muyingo e Ssama, muzzukulu wa Bukulu e Ffunve, e Ssese.
- Alondebwa ku bwa Mugaaju anabanga omuzzukulu asobola okukulembera nokulun g’ amya banne. Obwa Mugaaju tebubenga bwa nsikirano.
- Embuga enkulu eneberanga awo e Bugonzi mu kibanja kya Mugaaju omubereberye we yasenga nga avudde e Ssama. Ekibanja ekyo wewali nebiggya ebibereberye. Era Sekabaka Daudi Chwa II okutuwa Mailo eyo nga bajajjafe baberawo dda.
- Ba Mugaaju abaliddawo ba ddembe okuzikibwa awo ku biggya e Bugonzi oba okuzikibwa gyebaba balaamye.
- Olukiiko lwe Ssiga lunatulanga e Bugonzi okujjako nga akakiiko akafuzi kalagidde okulutuuza awalala olwokuyamba abantu okumanyagana.
- Akakiiko Akafuzi ke kano:
- Mugaaju ye Ssentebbe
- Katikiro
- Omuwanika
- Omuwandiisi
- Owomutuba Sabala
- Owomutuba Kasunsu
- Owomutuba Mudduabeera
- Owomutuba Bwakyadda
- Owomutuba Lumiramwenge
- Owomutuba Nserenguzi
- Owom utuba Busenze
- Owomutuba Lweserwa
- Owomutuba Lukanga
- Owomutuba Kolongola (yasaba okulabilirwa Mugaaju e Bugonzi)
Wetegereze. Mugaaju ne Kolongola baluganda era bombi baasenga ku Bugonzi
- Abemituba nga baweze batano abo banasobolanga okuteesa (quorum) naye nga Ssentebe Mugaaju oba omubaka we waali.
- Abakulu abo 13 banayinzanga okuwereza ababaka naye nga balina ebbaluwa ebanjula mu kakiiko akafuzi.
- Enkiiko ze kika eza bonna zinatulanga emirundi ebiri(April me October) naye obutasusa ena mu mwaka. Naye Mugaaju waddenbe okuyita olukiiko bwewanabangawo ensonga eyamangu.
- Emirimu:
- Mugaaju yanakubirizanga akakiko akafuzi era n‘olukiko lwa be Ssiga bonna era yatuusa ensonga zonna eri Omukulu w’eKika.
- Katikkiro anakubirizanga olukiiko era akola nga omumyuka wa Mugaaju, Mugaaju bwanabanga taliiwo.
- Omuwanika yanakumanga ensimbi zonna era alabirira ebintu byobugaga bwe Ssiga.. Wanabangawo Account mu Bank.
- Omuwandiisi yawandiika ebigambo byonna ebye Ssiga era yakuuma ebiwandiiko byonna ebye Ssiga naddala ebikwata kuby’enyimbe.
- Abakulu abe Mituba bavunanyizibwa mu bukulu bwabwe okwogerera e Mituba gyabwe nga bakolagana wamu, ne Katikiro, Omuwanika era n’Omuwandiisi.
Wetegereze: Emirimu gye Ssiga gyonna gyabwannakyewa. Naye Omuwanika anayambanga nga bwanabanga alabye ensimbi bwezinabangawo nga ayise mu kakiko akafuzi. (Laba akatundu 13)
- Olukiiko lwe Ssiga lunasalangawo ab’omusu mu ssiga lya Mugaaju ensimbi zebanawangayo buli mwaka okuddukanya ensonga ze Ssiga. Abenyiriri nab’emituba be banakunganya aga ensimbi. Buli muntu anaweza emyaka 18 yanasasulanga ensimbi ze essiga.
- Banasalangawo ne ku nsimbi ezo kwanjula enyimbe.
- Abazzukulu ba Mugaaju abesobola banirizibwa okwesonda nga bwebaba balabye okuddukirira ensawo ye ssiga lyabwe.
- Akakiiko akafuzi ka’ ddembe okulonda abazzukulu ku bukiiko obutali bwa ngeri zimu okukola ku bintu ebitali bimu ku bikwata ku Ssiga nga:
- Ebvenjigiriza
- Okutumbula ebyenfuna
- Okuddukirira ba mulekwa n ’abakadde mu kika
- Okutawulula enkayana etc.
- Abakulu abe Mituba bavunanyizibwa okuba ne bitabo omuwandikibwa abazzukulu era n’okuwereza amannya ago eri Omuwandiisi we Ssiga gayingizibwe mu Kitabo kye Ssiga.
Biwandiikidwa: Dr Jack Ganafa Musoke Jagwe, Mugaaju I, 28th April, 2007
Ebigambo ebyo bya kiriziganyizibwako olukiko lwa Mugaaju oiubereberye nga 28‘h April, 2007.
EBYAFAAYO BYA MONIKA NASEJJE NDIWONGAKI BALABAAMMBULA MUZUKULU WA MUGAAIU e BUGONZI, BUDDU.
Omukyala ono ow’omusu yali azaalibwa Omw. Kibaya eyaberanga e Bugonzi. Kibaya ye mwana owekkumi owa Nattuuma. Nattuuma ye mwana asooka era kati gwe Mutuba 0gwa Lweserwa e Buyiga. Lweserwa mwana wa Mugaaju.
Monika Ndiwongaki Balabaatambula Naseiie yoyo eyazikibwa mu nyumba eyebaati ku biggya bya Mugaaju e Bugonzi mu 1938. Monika Nasejje Balabaatambula yafumbirwa omwami ow’Engabi Sulemani Ndawula Nantawasa, e Kanyaga mu Buddu. Bombi bebazaala EVERINI KULABAKO, MUKULUABUZIBWA. MAASOMBIRA, NNABUAANO OMUSUBIKA, omuzaana wa Mwanga II. Kulabako yasiigibwa mu Lubiri lwa Namasole Baagalayaze ow’Eng’onge azaala Mwanga, nga muwala muto ddala. Nantawasa yali asse omukago ne Namasole oyo. Kulabako bweyavubuka naabera muwala mulungi nnyo! Kwekwava nokumutuuma erinnya erya Kulabako! Kabaka Mwanga bweyawulira ku muwala oyo, naye kwekwesitula ajje yerabireko nagage. Bweyamulaba amangu ago nasiima okumuwasa era nasaba nnyina atwale omuwala oyo. Wabula waiiawo ekizibu kikinoNantawasa yali asse omukago ne Namasoole Bagalaayaze.Kale nga omwana (Mwanga) tayinza kuwasa muwala wa Nantawasa ayita Namasole Sengawe kubanga omuwala aba ate nyina wa Mwanga! Naye ebyensi en0 Mwanga bweyadda mu Lubiri, basajjabe nga bamugamba omuwala amuwase. Munnange nga Kulabako afumbirwa Mwanga!
Kulabako yali muganzi nnyo mu maaso ga Mwanga. Era Mwanga mu nnaku nga atawanyizibwa ebyobufuzi abyaliwo mu biseera ebyo, ewa Kulabako gyeyawumulizanga ebirowoozo. Wayita ebbanga ttono nga Kulabako aba olubuto. Olwokubanga Nabikande eyaliwo mu kiseera ekyo, yaflsanga nnyo abaana, Kulabako yatwalibwa mangu mu kisaakate kya Sir Apolo Kagwa Katikiro gyaba azaalira. Eyono gyeyazaalira omulangira oyo ye Ssekabaka Daudi Chwa ll nga 8 August 1896. Kigambibwa nti Kabaka Mwanga yali tali mu kibuga kye omulangira 0kuzaalibwa. Bweyadda nalaba nakungiririza nti, “Oooo, laba omuntu wammwe wuuyo! Temugenda kufuna mulala”. Okwogera ebigambo ebyo yalinga alaama, nga ne Mwanga yennyini akiraba nti ku Namulondo taiia kubeerako. Era ebyaddirira byebyo; Mwanga yawangangusibwa abafuzi b’Amatwale. Omulangira Chwa nasikira kitaawe nga Kabaka Chwa II! Chwa bweyakula natuuka ku bukulu obwokufuga ensiye, Namasole Kulabako yagenda e Lusaka (e Lukuli) mu lubiri olutongole olwobwa Namasole. Maamawe Monika Ndiwongaki Balabaatambula yawebwa e kibanja awo wakati wa Lukuli ne Makindye; naye nabeera awo okumpi ne muwalawe. Ekibanja ekyo abamu bagamba nti kikyaliwo ne kakano nga kya ba Musu. Abalala bagamba nti kyarwalibwa abantu abalala.
Mu bulamu bwe Namasole yakola olubiri kububwe e Kanyanya okumpi ne mailo ya Bakojjabe abaali e Kanyanya. Mungeri yeemu ne Monika Ndiwongaki yaweebwa ekibanja e Kanyanya mbu nokutuusa kati wekiri. Ab’omusu bebakirimu.
Namasole yagabana Mailo mukaaga mu ndagaano ya 1900. Mailo ye Bugonzi yagiwa Bakojjabe. Namasole bweyafa yaleka alaamye nti Mailo emu ku mutala Bugonzi ya bakojja be. Mailo eno yakubibwa ku Bugonzi, Masaka, F.C 11092 Volume 15, Folio 2. Ettaka eryo ssirya muntu, wabula okukumiramu obwa Nakazadde buli anaabanga abusikidde. Era Abomusu abali ku mailo eyo nga tebawa busuulu nge ebintu tebinakyuka. Ekyapa kye ttaka eryo kyakwasibwa abakulu be Bugonzi. Omutaka C .L. Bbira yeyatwalayo ekyapa ekyo nga kibawerezebwa muzukulu wabwe Sekabaka Muteesa ll.
Omuzaana Monika Nasejje Ndiwongaki Balabaatambula bweyafa yasikirwa Mangadalena Nasejje Muzaana II muwala wa Petero Tamusange Mulongosa Gasuza e Bulenge, Buddu. Gasuza mutabani wa Basajjakambwe, owa Lweserwa mu Mutuba gwa Mugaaju, e Bugonzi.
Obusika obwoyo asikira Monika Balabaatambula bwafuuka bwansikirano era asika ayitibwa Omuzaana owe Bugonzi. Eyali asikidde Mangadalena Nasejje Muzaana ll alabika yatya obuvunanyizibwa; ekifundikwa nakizaayolMu kiseera kino Muzaana aliko ye Jacqueline Nabwami Muzaana lll. Abazukulu ba Mugaaju benyumiriza nnyo mu muwala wabwe oyo Balabaatambula eyazaala Maasombira eyazaala Chwa kubanga yabatuusa ku bwa Nakazadde. Ate luno jjo lya balamu omuzukulu omulala ow’omusu Sylvia Nagginda Nabagereka bwafumbiddwa Ssabasajja ate neguiiabagira!

OLUKIIKO LW’ABATAKA ABAKULU AB’OBUSOLYA KU TWEKOBE MENGO. 16-08-2014

Omukisa ogwenjawulo Ssabasaja Mutebi H ng’alamusa ku Jjajja we Mugaaju.



