Nakaddu Mukasa omukomazi mwana wa MUYINGO Essama Mawokota gwe yazalira ku kizinga Ffunve Essese.
Okuba omukomazi wembugo ebbiri olwamakula nenjegula ezemanju era nokuba omukulu we ssiga Nokukulira abo omusubonna abali mu saza lye Buddu.
Kawoko bwe butaka bwe.
Obukulu obwo bwamuwebwa Kabaka Jjunju.
Nakaddu yava ku kizinga Ffunve okujja kulukalu yaj j a anoonya kitaawe MUYINGO era yajja me ha Taatabe, abato okwali 1) Mugaaju 2) Kolongola 3) Kaswiga 4) Nyanja.
BANO BEBA NAKADDU ABAZZE BAKULEMBERA ESSIGA
- Nakaddu Mukasa Omukomazi. Ya zaala abaana bataano, bweyafa, mutabani we omukulu namusikira (ikabaale})
- Kiwanuka Kabaale nakomagira Kabaka Semakookiro era naye yazaaIa abaana mukaaga, omwana we omukulu Damulira namusikira.
- Damulira yakomagira Kabaka Kamaanya era naye yazaala abaana kumi nabataano. Damulira ya tambibwa Kabaka kamaanya yasikirwa omwanawe owokuna Nkanji.
- Nkanji yakomagira Kabaka Kamaanya ne Kabaka Suuna II naye yali atwaala embugo embuga nakwatibwa obulwadde bwa kawumpuli nga atuuse ensiimbe ku lwe Masaka natumira mutowe omwana wa Damulira owomunaana kikaawa okukuuma entebbe olwokuba abaanabe baali bato naye ya zaala abaana kumi nabasatu (13).
- Kikaawa nakomagira Kabaka Mutesa I ne Kabaka Mwanga II era naye yazaala abaana kumi namukaaga (16) bwe yafa mutabani we owo mwenda (9) Sembuya namusikira.
- Samwiri Sembuya (Nsereko) Nakomagira Kabaka Mwanga II era naye bwe yali agenze okulwanirira Kabaka Mwanga yagenda ne muudu ya pokino bwe yakomawo nagobwa kubutaka bwa bajjajabe nadukira egomba mulunya nakyusa nelinya Iya Sembiya ne yeyita Nsereko olwokutya okutibwa, pokino. Ela obutakabwe Pokino nabuwa Kanyolo okubudukanya okusoloza emisolo. Kanyolo natwala obutaka wamu nobwa Kikaawa. Kanyolo teyamanya nti obutaka tebwali bwa Kikawa, bwali bwa nakaddu.
Naye munsanji ezo kikaawa wayeliira obwa Nakaddu erinya lya
Nakaddu telyakola kubanga kikaawa kumutala ogwo yali mwatikirivu olwensonga nti yali mukubi wangalabi owa maanyi ate nga muyiisa wa mwenge ogwali omulungi, elinyalye lye lyayatukirira olwo Kanyolo yali taramanya linya lya Nakaddu Mukasa ye yatwala butaka bwakikaawa ela ne mairo nagisaba yamuwebwa pokino yali aganzizza mwanyina wa Kanyolo Kajane.
Oluvanyuma lwe emyaka 105 ensonga zatulibwamu abomusayi gwa Nakaddu ela ne balonda omutaka Ather Damulira okuba sentebe nomu wandisi G.W Nkanji ne katikiro Kirembwe Kirizeston okukunganya obujulizi okuva mu mpuyi zonna.
Ela ensonga zatwalibwa mukika kyomusu era zawulirizibwa nekisalibwawo essiga Nakaddu liddizibwe omusayi gwagwo. Nekanyolo nafuna essiga lya kanyolo kikaawa olwo Ather Dmulira owe Makondwa nafuka Nakaddu owo musanvu (7) era naye yakola kumulembe gwa Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II nga ava mulunyiriri lwa kolera omwana wa Nkanji (Nakaddu owo kuna (4)).
Arther Damulira nga mulamu yategeza abe ssiga lya Nakaddu nti yawoza musango nolwekyo alina okutereza ”eseiga lidde mulunyiriri lwa Namwanja kuba ye yali omwana wa Nkanji omukulu ela essiga ne lilonda Salongo Jagwe Mohamed Kabaale II omwana wa Haji
Swayibu Jagwe atule mutebe eyo kumulembe gwa Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II nga 21/01/2012. Kubutaka.
Ekawoko Buddu ye Nakaddu owo munaana (8) nga yatuzibwa, J ajja we KIKA Cristopher Kannabi N sawo Nkadde.
GINO GYE MITUBA GYA NAKADDU, GIRI MUSANVU (7 )







0