Ebikwata ku Kika – Ensibuko y’Ekika ky’Omusu
| Omuziro (Totem) | Omusu (Giant Cane Rat) |
| Akabbiro | Kayozi |
| Omukulu w’ekika – Owakasolya (Clan Leader) | Muyingo |
| Ensibuko y’ekika (Ancestral Place) | Ssama |
| Ssaza | Mawokota |
| Omubala (Clan motto) | Kivu Kivu, Kyajj’okuluma n`okutwalana…………. |
Abo Musu twajja ku Mirembe gya Ssekabaka Ndawula nga tusibuka ku Kizinga Funve e Ssese. Jjajafe Bukulu Bwa wadda yasooka kubeera eno ku lukalu e Naberenga mu Ggombolola ye Ssisa, Busiro.
Ebiseera ebyo waluwo enkoIa eya abakulu okufuna e Kizinga, bwatyo Jjaja Bukulu Bwa wadda naye ekinyegenyege kyamukwata nagenda e Funve gyeyazalira abaana be. Baba bali eyo, mugandawe Kawakuzi nasaba mukwano gwe ente eyokulunda nebagimuwa. Ebya embi mugandawe naffa era nente nayo neffa.
Oluvanyuma nannyini nte yajja okubanja ente ye era yasanga gweyagiwa yaffa dda. Yabategeeza nti ente ye mujjakujisasula ka kibe ki.
Balaba nanyini nte aIemeddeko nebagenda ewa omuganga abawonye omusajja ababaja.
Omuganga yabagamba nti mugende muyige akasolo konna akatono mukakwate. Bwemukafuna mugende ku malaalo ga oyo eyalya ebanja mukasimireko era mukateeke mu sanja museeko ne akaguwa ne mpulizo.
Bafuna akasolo ako nebakola nga bwebagambibwa. Olwamala nga bayita nanyini nte okujja ba musasule ente ye.
Bamutwala ku malaalo ago era olwatuuka nebakuba ku malaalo nga bwebagamba nti zuukuka, zuukuka ojje osasule ente era akasolo kagugumuka nga kasamba esanja elyakatekebwako.
Eyali abanja bweyawulira yalowooza nti omugenzi ava magombe nasaako kakokoia tondeka nyuma nga bwagamba nti mumuleke sikyabanja ne ente njibasonyiye.
Aboluganda oluvanyuma betegereza akasolo akabawonya ebanja nga Musu awo kitabwe wayabagambira nti okuva ku olwo bakendire olwkubamnya ebanja. Bakegereza nnyo nga kafanana ne Akayozi nebasalawo Akayozi kabe akabbiro otwokwewala abo mululu okulya Omusu nebaguyita Akayozl. Awo we twava okweddira Omusu.
Omusu
Bukulu yasalawo okudda ku lukalu nga yalekayo e Funve abaana be. Oluvanyuma Tamusange, Nkalubo ne Nabankema baabaja eryato Nakibeeba nebasabala nga bagukira ku mwalo e Buvumbo Mawokola nga banoonya kitaabwe Bukulu. Bwabava ku mwalo basanga Omultaka Kukomeko owe Njovu eya basenza e Ssama era okuva ku olwo obwo bwe butaka bwaffe
Bo baganda babwe abasigalayo nabo bagobelera omuli Mugaaju eyasenga e Bugonzi, Nakayima e Kirudu Kyagwe, Kumuli e Koome, Kabanvu e Kibanda nabalala.
Oluvanyuma abaana bonna bajja e Ssama awali mukulu wabwe Tamusange ne batuula neba Mulonda okukulembera ekika kyabwe. Bamutuuza ku yinya Mutagaana era okwo kweyasinzira okuwa baganda be amasiga. Mu kino obutafanana nabika birala, aba Masiga mu kika ky Omusu babeera baganda ba Muyingo so nga mu bika ebirala babeera baana ba mukulu wa kika.
Mutagaana (Official Musu Clan throne)
Erinnya erya Muyingo lyava ku kuba nti Tamusange ye yasikanga omuti ogwagalanga oluggi oguyitibwa ‘Omuyingo‘ webava nebamukazako erya Muyungo.
Tamusange nga omuntu bwe yaffa yasikirwa omwana we Mulumba Nsawonkadde ate obwa Muyingo nabulekera abaana be belondengamu Muyingo era nabuli kati bwekikolebwa.
OBWANAMUSU
Nkalubo muganda wa Tamusange yali musawo era nga alina erinnya era Luwolta Mivula, eryava ku kulagira kweyalagiranga emivule negyeweta nanogako eddagala. Ssekabaka Ndawula yawulua etutumu lya Nkalubo bwatyo namutumya abe omusawo mu Luburi.
Teyakoma ku busawo era yali mugalagala. Ekyamanyisa ennyo Nkalubo, lwali olwo Omuzaana Luyiga eyalina ettu, yakolola nga Ssekabaka Ndawula ali mu bibbo. Ssekabaka yalagira Nkalubo agenda amutte olwa ekyejjokye.
Nkalubo yakwata omuzaana namutwala wabula nga amanyi nti ekimukozesaza ekyo yalina ettu kubanga ye omu ku abo Nkalubo beyali yawa oluzaalo. Nkalubo yafuna omukazi ali olubuto gweyatamu olwokutya nti Ssekabaka ayinza okutuma abantu balabe oba akikoze. Nga wayise ebanga, omuzaana yazala omwana ow’obulenzi.
Mubuvumu obwekitalo Nkalubo yaddayo ewa Ssekabaka Ndawula na mutegeeza nti omuzaana Luyiga teyamutta wabula yazaala omwana wa bulenzi. Ssekabaka yasanyuka nnyo era omulangira natumwa erinya erya Mawanda olwa omuzaana okukololera Kabaka nga ali mu bibbo.
Okuva ku olwo Ssekabaka yasembeza Nkalubo namugamba nti abomusu mulibesigwa nnyo namuwa okukuuma emanju wa Kabaka.
Nga ali emanju Nkalubo ye yayinya amantambutambu ga Kabaka tegasaana kubera bweru nga gamukopi. Nkalubo yasiimanga ekinya Kabaka mwe yafulumanga.
Ssekabaka yasiima Nkalubo kyakoze nalagira bamuweseze ekifumu ekyayitibwa kayiikuzi kyeyakozesanga okusima ebinya.
Nazikuno nga obwanamusu sikukuma bukumi manju wabula Namusu ye ayala obuliri bwa Kabaka, yamanya bwe yasuze era nga Katikiro gwatuukirako okubuza Kabaka bwe yasuze.
Awo we wava obwa Namusu nga mu buli Lubiri wabaayo Namusu era abeera muganda wa Nkalubo
Wano Ayi Beene ukujukiza nga obwa Namusu bukyanga Nelson Nkalubo eyaIi Namusu affa tebunaterera anti tewali Namusu yali alongozeddwa.
Bwekityo omulimu gwaffe ogwa e Nono gwagala kutuyita mu myaganya gya ngalo wadde nga Omutaka awandiise ebaluwa ezenjawulo.
EBIKOLEDDWA
Mu kiseera kino twefunyiride okuzimba embuga ya Muyingo e Ssama ku butaka nga eyo tulinayo obunene bwa Acres 100 era ettaka eryo Ayi Beene wagenda okulagira okulisa mu bayima (trustees) ffe nga twakikola dda nga be be Omutaka Muyingo. Jjaja Nsawo Nkadde ne Owesiga Kabanvu.





