Ebika birina enfuga yaabyo nga bweyategekebwa ba Jajjaffe okuva edda.
Enju oba Ennyumba
Omwami , Taata oba Nnyinimu yemukulu w’ennyumba. Era bwewabaawo obutakkaanya ensonga zisalibwawo bannanyini Nju/ Nnyumba eyo. Era kisaana ebisaliddwawo okusigala mu nnyumba eyo wabula nga waliwo okujulira.
Oluggya oba Empya
Ensonga bwezirema okusalibwawo mu nju oba mu nnyumba olwo bigenda mu Lukiiko lw’O luggya olwo. Buli luggya lubaamu alukulira oba Musika oba Mukuza. Abakulu abasibuka mu luggya olwo nga bakulirwa omukulu w’Oluggya bayingira mu nsonga ezo era nebazigonjoola. Wabula bwebibalema olwo bijulira mu Lukiiko lw’Olunyiriri .
Olunyiriri oba Ennyiriri
Empya ezisibuka mu Jajja omu bwezegatta awamu olwo abakulu baazo nebakola Olukiiko lw’O lunyiriri. Abakulu b’Ennyiriri berondamu omu ,oba ayinza okuba nga yeyasikira olunyiriri olwo . Atuuza Olukiiko ne bakulu banne ne bayamba okusalawo ku nsonga eziremye empya.
Omutuba oba Emituba
Omukulu w’Omutuba ye Owomutuba naye alina olukiiko omujulirwa emisango, obutakirizaganya oba enkayana zonna eziva mu nnyiririze. Olukiiko lwe lusalawo ku nsonga ezireteddwa abazukulu okuva wansi zezo ezijulidde gyaali.
Essiga oba Amasiga
Olukiiko lwe Ssiga lukulu nnyo era lutereeza ensonga zonna eziva mu Mituba gyaalwo. Owessiga muntu mukulu nnyo mu kika. AbakUlu abamasiga ze mpagi eziwanirira omukulu w’Ekika ekyo. Era erinnya “ amasiga” kyaava kukulaga ekifaana nyi nti entamu(Akasolya) etuula ku masiga. Kalenno n’Omukulu w’e Kika atuula n’Abamasigabe‘okutereeeza ensonga z’Ekika kye.
Omusango ogulemererwa omukulu w’Ekika gujulira wa Katikiro ate ye nagutuu‘sa ewa Ssabataka. Ssabataka alina e Kooti ye gyebayita eya Kisekwa. Eno yekomererayo.
Wetegereze:
Emisango gy’E bika tegiwabibwa mu Kooti za Gavumenti .Kyava ku nsonga nti nga tukyafugibwa Abafuzi b’Amatwale abakulu babiri mu Kika ky’Empewo balina enkayana nebazijuliza mu Kooti enzungu. Qmu ku B akulu mu Kika ky’Empewo nawoza mi eiiinja lyaabwe eriyitibwa Kkungu lyatambula neriva e Kyagwe nerisenga e Kungu mu Kyadondo! Omulamuzi omuzungu kino kyamuiia enviri ku mutwe ! Kwekulagira nti tewabanga addayo okutwala emisango gy’Ebika mu Kooti za Gavumenti. Emisango gy‘Ebika bagyewozesezenga bokka:
Buli Kakiiko ka Nju/Nyumba, Luggya, Lunyiriri, Mutuba ,Ssiga ne Akasolya kalonderwamu bano :
Katikiro
Omuwandiisi
Omuwanika
N’abalala abatuula ku Kakiiko nga bwekiba kyetaagisa.
0